0:00
0:00

Essuula 70

Oyanguwe, ai Katonda, okundokola; Oyanguwe okunnyamba, ai Mukama.
2 Bakwatibwe ensonyi baswale Abanoonya emmeeme yange: Bazzibwe ennyuma bajeezebwe Abasanyukira okufiirwa kwange.
3 Bazzibwe ennyuma olw'ensonyi zaabwe Aboogera nti Nyenya, nyenya.
4 Bonna abakunoonya bakusanyukirenga bajaguzenga; N'abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti Katonda agulumizibwenga.
5 Naye nze ndi mwavu, sirina kintu; Oyanguwe okujja gye ndi, ai Katonda: Ggwe oli mubeezi wange era omulokozi wange; Ai Mukama, tolwawo.