0:00
0:00

Essuula 106

Mumutendereze Mukama. Kale mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 Ani ayinza okwatula ebikolwa eby'amaanyi ebya Mukama, Oba okwolesa ettendo lye lyonna?
3 Balina omukisa abakwata omusango, N'oyo akola eby'obutuukirivu mu biro byonna.
4 Onjijukire, ai Mukama, n’ekisa ky'olina eri abantu bo; Nkwegayiridde, onjijire n'obulokozi bwo:
5 Ndabe abalonde bo nga balaba omukisa, Nsanyukire essanyu ery'eggwanga lyo. Neenyumirize wamu n'obusika bwo.
6 Twayonoona ffe ne bajjajjaffe, Twakola ebitali bya butuukirivu, twakola obubi.
7 Bajjajjaffe tebaategeera bya magero byo mu Misiri; Ne batajjukira kusaasira kwo okungi; Naye ne bajeemera ku nnyanja, ku Nnyanja Emmyufu.
8 Era naye n’abalokola olw'erinaya lye, Amanyise obuyinza bwe obungi.
9 Era n'anenya Ennyanja Emmyufu, n'ekalira: Awo n'abayisa mu buziba, nga mu ddungu.
10 N'abalokola eri omukono gw'oyo eyabakyawa, N'abanunula mu mukono gw'omulabe.
11 Amazzi ne gabikka ku balabe baabwe: Ne watasigalawo n'omu.
12 Ne balyoka bakkiriza ebigambo bye; Ne bayimba okumutendereza.
13 Beerabira mangu emirimu gye; Tebaalindirira kuteesa kwe:
14 Naye ne beegombera nnyo mu lukoola, Ne bakemera Katonda mu ddungu.
15 N'abawa bye baasaba; Naye n'aleeta obukovvu mu mmeeme yaabwe.
16 Era obuggya ne bubakwatira Musa mu lusiisira, Ne Alooni omutukuvu wa Mukama.
17 Ensi n'eyasama n'emira Dasani. N'ebikka ku kibiina kya Abiraamu.
18 Omuliro ne gwaka mu kibiina kyabwe; Ennimi zaagwo ne zookya ababi.
19 Ne bakolera ennyana mu Kolebu, Ne basinza ekifaananyi ekisaanuuse.
20 Bwe batyo ne bawaanyisa ekitiibwa kyabwe Okuba ekifaananyi ky'ente erya omuddo.
21 Ne beerabira Katonda omulokozi waabwe, Eyakolera ebikulu mu Misiri;
22 Eby'amagero mu nsi ya Kaamu, N'eby'entiisa ku Nnyanja Emmyufu.
23 Kyeyava ayogera ng'alibazikiriza, Singa Musa omulonde we teyayimirira mu maaso ge mu kituli, Okuzzaayo obusungu bwe, aleme okubazikiriza.
24 Weewaawo, baanyooma ensi ey'okwesiima, Tebakkiriza kigambo kye;
25 Naye ne beemulugunya mu weema zaabwe, Ne batawulira ddoboozi lya Mukama.
26 Kyeyava ayimusa omukono gwe gye bali, Ng'alibasuulira mu ddungu:
27 Era ng'aligwisa ezzadde lyabwe mu mawanga, Era ng'alibasaasaanya mu nsi.
28 Era ne beegatta ne Baalipyoli, Ne balya ssaddaaka ez'abafu.
29 Bwe batyo bwe baamusunguwazanga n'ebikolwa byabwe; Kawumpuli n'agwa mu bo.
30 Finekaasi n'alyoka ayimirira n'atuukiriza omusango: Kawumpuli n'aziyizibwa bw'atyo.
31 Ekyo ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, Okutuusa emirembe gyonna egitaliggwaawo.
32 Era ne bamunyiiriza ku mazzi ag'e Meriba, N'okulaba Musa n'alaba obubi ku lwabwe:
33 Kubanga baali baagala okujeemera omwoyo gwe, N'ayogera ebitali bya magezi n'emimwa gye.
34 Tebaazikiriza mawanga, Nga Mukama bye yabalagira;
35 Naye ne beegatta n'amawanga, Ne bayiga emirimu gyabwe:
36 Ne baweereza ebifaananyi byabwe; Ebyabafuukira ekyambika.
37 Weewaawo, baawangayo batabani baabwe ne bawala baabwe eri bassetaani.
38 Ne bayiwa omusaayi ogutaliiko kabi, gwe musaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe, Be baawangayo eri ebifaananyi bya Kanani; Ensi n'eyonooneka n'omusaayi.
39 Bwe batyo ne babaako empitambi olw'emirimu gyabwe, Ne bagenda bayenda mu bikolwa byabwe.
40 Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuuka eri abantu be, N'atamwa obusika bwe.
41 N'abawaayo mu mukono gw'amawanga; N'abo abaabakyawa ne babafuga.
42 Era abalabe baabwe ne babajooga, Ne bajeemulwa wansi w'omukono gwabwe.
43 Emirundi emingi yabawonya; Naye ne baagala okujeema mu kuteesa kwabwe, Ne bajeezebwa mu butali butuukirivu bwabwe.
44 Era naye n'atunuulira ennaku zaabwe, Bwe yawulira okukaaba kwabwe:
45 N'abajjuukirira endagaano ye, Ne yejjusa ng'okusaasira kwe bwe kuli okungi.
46 Era n'ababasaasiza Bonna abaabatwalanga mu busibe.
47 Otulokole, ai Mukama Katonda waffe, Otukuŋŋaanye tuve mu mawanga, Okwebazanga erinnya lyo ettukuvu, N'okujagulizanga ettendo lyo.
48 Yeebazibwenga Mukama, Katonda wa Isiraeri, Okuva emirembe gyonna okutuuka mu mirembe gyonna. Era bonna boogere nti Amiina. Mumutendereze Mukama.