Essuula 21

Kabaka anaasanyukiranga amaanyi go, ai Mukama; N'obulokozi bwo ng'anaabujagulizanga nnyo!
2 Omuwadde omutima gwe kye gwagala, So tomummye emimwa gye kye gisabye. (Seera)
3 Kubanga omusisinkanye n'eby'omukisa eby'obulungi: Omuteekako ku mutwe gwe engule ey'ezaabu ennungi.
4 Yakusaba obulamu, n'obumuwa; Era n'ennaku ennyingi ez'emirembe n'emirembe.
5 Ekitiibwa kye kingi mu bulokozi bwo: Ekitiibwa n'obukulu obimussaako.
6 Kubanga omuteekawo okuba omukisa omungi emirembe gyonna: Omusanyusa essanyu mu maaso go.
7 Kubanga kabaka yeesiga Mukama, N'olw'ekisa ky'oyo ali waggulu ennyo taasagaasaganenga.
8 Omukono gwo gulituuka ku balabe bo bonna: Omukono gwo ogwa ddyo gulituuka ku abo abakukyawa.
9 Olibafaananya ng'ekikoomi ekyaka mu biro eby'obusungu bwo. Mukama alibamira mu kiruyi kye, N'omuliro gulibalya.
10 Ebibala byabwe olibizikiriza ku nsi, N'ezzadde lyabwe mu baana b'abantu.
11 Kubanga baakuteeseza obubi: Baasala olukwe, lwe bataayinza kukola.
12 Kubanga olibazza ennyuma, Oliteekateeka engoye zo ez'omutego ku maaso gaabwe.
13 Ogulumizibwenga, ai Mukama, mu maanyi go: Tulyoke tuyimbenga tutenderezenga obuyinza bwo.