0:00
0:00

Essuula 91

Atuula mu kifo eky'ekyama eky'oyo ali waggulu ennyo Ye anaabeeranga wansi w'ekisiikirize eky'Omuyinza w'ebintu byonna.
2 Naayogeranga ku Mukama nti Oyo kye kiddukiro kyange, era kye kigo kyange: Katonda wange gwe nneesiga.
3 Kubanga oyo ye anaakulokolanga mu mutego ogw'omuyizzi, Ne mu kawumpuli omubi.
4 Anaakubikkangako n'ebiwaawaatiro bye, Era wansi w'ebyoya bye w'onoddukiranga: Amazima ge ye ngabo, ge gakuuma.
5 Tootyenga lwa ntiisa ya kiro Newakubadde akasaale akagenda emisana;
6 Olw'olumbe olutambulira mu kizikiza, Newakubadde olw'okuzikiriza okufaafaaganya mu ttuntu.
7 Abantu olukumi baligwira ku lubiriizi lwo, Era akakumi ku mukono gwo ogwa ddyo; Tekulikusemberera ggwe.
8 Naye olitunula n'amaaso go, Oliraba empeera y'ababi.
9 Kubanga ggwe, ai Mukama, oli kiddukiro kyange Omufudde oyo ali waggulu ennyo ekigo kyo w'otuula;
10 Tewali kabi akalikubaako, so tewali kibonoobono ekirisemberera eweema yo.
11 Kubanga alikulagiririza bamalayika be, Bakukuume mu makubo go gonna.
12 Balikuwanirira mu mikono gyabwe, Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja.
13 Olirinnya ku mpologoma ne ku ssalambwa; Olisamba empologoma ento n'omusota wansi w'ebigere byo.
14 Kubanga antaddeko okwagala kwe, kyendiva mmuwonya: Ndimugulumiza waggulu, kubanga amanyi erinnya lyange.
15 Alinkaabira, nange ndimuyita; Naabeeranga wamu naye bw'anaanakuwalanga: Ndimuwonya, ndimuwa ekitiibwa.
16 Ndimuwangaaza nnyo, ndimukkusa obulamu, Era ndimulaga obulokozi bwange.