Essuula 4

Onziremu bwe nkukaabira, ai Katonda ow'obutuukirivu bwange; Wansumulula bwe nnali mu nnaku; Onsaasire, ompulire okusaba kwange.
2 Mmwe abaana b'abantu, mulituusa wa okukyuusa ekitiibwa kyange mu nsonyi? Mulituusa wa okwagala ebitaliimu, n'okugoberera eby'obulimba? (Seera)
3 Naye mutegeere nga Mukama yeeterekedde atya Katonda: Mukama anaawuliranga bwe nnaamukoowoolanga.
4 Muyimirire nga mutya, muleme okwonoona: Mulowooze mu mutima gwammwe ku kitanda kyammwe, musiriikirire. (Seera)
5 Muweeyo sadaaka ez'obutuukirivu, Era mwesige Mukama.
6 Waliwo bangi aboogera nti Ani alitulaga ekintu ekirungi? Mukama, ggwe oyimuse omusana ogw'amaaso go ku ffe.
7 Otadde essanyu mu mutima gwange, okusinga ery'omu kyengera ky'emmere n'omwenge gwabwe.
8 Mu butatya naagalamiranga ne nneebaka: Kubanga ggwe wekka, Mukama, ontuusa mu mirembe.