0:00
0:00

Essuula 87

Emisingi gye giri ku nsozi entukuvu.
2 Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni Okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.
3 Eby'ekitiibwa bikwogerwako, Ggwe ekibuga kya Katonda. (Seera)
4 Ndyogera ku Lakabu ne Babulooni nga bali mu abo abammanyi: Laba Firisutiya, ne Ttuulo, ne Esiyoopya; Oyo Yazaalirwa omwo.
5 Weewaawo, kiryogerwa ku Sayuuni nti Gundi ne gundi baazaalirwa omwo; N'oyo ali waggulu ennyo alikinyweza yennyini.
6 Mukama alibala, bw'aliwandiika amawanga, Nti Gundi yazaalirwa omwo. (Seera)
7 Abayimba era n'abo abazina (balyogera nti) Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.