0:00
0:00

Essuula 86

Otege okutu kwo, ai Mukama, onziremu; Kubanga nze ndi mwavu, sirina bintu.
2 Okuume emmeeme yange; kubanga nze ntya Katonda: Ai ggwe Katonda wange, olokole omuddu wo akwesiga.
3 Onsaasire, ai Mukama; Kubanga nkukoowoola ggwe okuzibya obudde.
4 Osanyuse emmeeme y'omuddu wo; Kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe, ai Mukama.
5 Kubanga ggwe, Mukama, oli mulungi, oyanguwa okusonyiwa, Era ojjula ekisa eri abo bonna abakukoowoola.
6 Otege okutu, ai Mukama, eri okusaba kwange; Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange.
7 Ku lunaku olw'okunakuwala kwange ndikukoowoola; Kubanga olinziramu.
8 Tewali afaanana nga ggwe mu bakatonda, ai Mukama; So tewali bikolwa ebiri ng'ebibyo.
9 Amawanga gonna ge wakola galijja, galisinza mu maaso go, ai Mukama; Era galigulumiza erinnya lyo.
10 Kubanga ggwe mukulu, era okola eby'ekitalo: Ggwe Katonda wekka.
11 Onjigirizenga ekkubo lyo, ai Mukama; naatambuliranga mu mazima go: Ogatte wamu omutima gwange gutye erinnya lyo.
12 Naakutenderezanga, ai Mukama Katonda wange, n'omutima gwange gwonna; Era naagulumizanga erinnya lyo emirembe gyonna.
13 Kubanga okusaasira kwo kungi gye ndi; Era wawonya emmeeme yange mu bunnya obuli wansi ennyo.
14 Ai Katonda, ab'amalala bangolokokeddeko, N'ekibiina eky'abatemu banoonyezza emmeeme yange, So tebakutadde ggwe mu maaso gaabwe.
15 Naye ggwe, ai Mukama, oli Katonda ajjula okusaasira, ow'ekisa, Alwawo okusunguwala, alina okusaasira n'amazima amangi.
16 Onkyukire, onsaasire; Owe omuddu wo amaanyi go, Olokole omwana w'omuzaana wo.
17 Ondage akabonero olw'obulungi; Abankyaye bakalabe bakwatibwe ensonyi. Kubanga ggwe, ai Mukama, onnyambye, era onsanyusizza.