0:00
0:00

Essuula 44

Twawuliranga n'amatu gaffe; ai Katonda, bajjajja baffe baatubuuliranga, Emirimu gye wakolanga mu nnaku zaabwe, mu nnaku ez'edda.
2 Amawanga wagagobamu n'omukono gwo, n'obasigamu bo; Wabonyaabonya amawanga, n'ogasaasaanyiza ddala.
3 Kubanga tebaalya nsi olw'ekitala kyabwe, Newakubadde omukono gwabwe si gwe gwabalokola: Wabula omukono gwo ogwa ddyo n'engalo zo, n'omusana ogw'amaaso go, Kubanga baalaba ekisa eri ggwe.
4 Ggwe oli kabaka wange, ai Katonda: Lagira obulokozi eri Yakobo.
5 Ku bubwo tulisindika abalabe baffe wansi: Olw'erinnya lyo tulirinnyirira abo abatugolokokerako ffe.
6 Kubanga ssiryesiga mutego gwange, So ekitala kyange si kye kirindokola.
7 Naye ggwe watulokola eri abalabe baffe, Era wabaswaza abatukyawa.
8 Mu Katonda mwe twenyumiririza obudde okuziba, Era tuneebazanga erinnya lyo emirembe gyonna. (Seera)
9 Naye kaakano otusudde wala, otukwasizza ensonyi; So totabaala n'eggye lyaffe.
10 Otuzza nnyuma eri abalabe: N'abo abatukyawa beenyagira.
11 Watuwaayo ng'endiga okuba ennyama; Watusaasaanya mu mawanga.
12 Abantu bo obatundira bwereere, So n'omuwendo gwabwe togwongezezza ku bugagga bwo.
13 Otufuula ekivume eri abaliraanwa baffe, Ekinyoomebwa, ekisekererwa eri abo abatwetoolodde.
14 Otufuula olugero mu mawanga, Okunyeenyezebwa kw'omutwe mu bantu.
15 Obudde okuziba okunyoomebwa kwange kunjolekedde, N'ensonyi ez'amaaso gange zinsaanikidde,
16 Olw'eddoboozi ly'oyo aboggola, avuma; Olw'omulabe n'olw'oyo awalana eggwanga.
17 Ebyo byonna bitutuuseeko; naye tetukwerabidde, So tetukoze bya bulimba mu ndagaano yo.
18 Omutima gwaffe teguzze nnyuma, So ebigere byaffe tebikyamye kuva mu kkubo lyo;
19 Ne we watumenyaamenya ennyo mu kifo eky'ebibe, N'otusaanikiza ekisiikirize eky'okufa.
20 Oba nga twerabidde erinnya lya Katonda waffe, Oba tugolodde emikono gyaffe eri katonda omuggya,
21 Ekyo Katonda talikikenneenya? Kubanga ebyama eby'omu mutima abimanyi.
22 Era tuttibwa obudde okuziba okulangibwa ggwe; Tuli ng'endiga ez'okusalibwa.
23 Zuukuka, kiki ekikwebasa, ai Mukama? Golokoka, totusuulanga wala emirembe gyonna.
24 Kiki ekikukwesezza amaaso go, N'ebibonoobono byaffe n'okujoogebwa n'obyerabira?
25 Kubanga emmeeme yaffe ekutamye mu nfuufu: Olubuto lwaffe lwegasse n'ettaka.
26 Golokoka okutuyamba, Otununule olw'ekisa kyo.