0:00
0:00

Essuula 50

Katonda, Katonda, Mukama, ayogedde, N'ayita ensi okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba. Katonda amasamasizza.
2 Okuva mu Sayuuni, obulungi obutuukiridde, Katonda amasamasizza.
3 Katonda waffe alijja, so talisirika; Omuliro gulirya mu maaso ge, Omuyaga omungi gulimwetooloola.
4 Alikoowoola eggulu waggulu, N'ensi, alyoke asalire abantu be omusango:
5 Mukuŋŋaanye abatukuvu bange awamu we ndi; Abaalagaana nange endagaano n'essaddaaka.
6 N'eggulu liribuulira obutuukirivu bwe; Kubanga Katonda ye mulamuzi yennyini. (Seera)
7 Muwulire, abantu bange, nange naayogera; Ggwe Isiraeri, nange naakutegeeza; Nze Katonda, Katonda wo.
8 Siikunenye lwa ssaddaaka zo; N'ebyokebwa byo biri mu maaso gange bulijjo.
9 Siriggya seddume mu nnyumba yo. Newakubadde embuzi ennume mu bisibo byo.
10 Kubanga buli nsolo ey'omu kibira yange, N'ente ez'oku nsozi lukumi.
11 Ennyonyi zonna ez'oku nsozi nzimanyi: N'ensolo ez'omu nsiko zange.
12 Singa nnumwa enjala, sandikubuulidde: Kubanga ensi yange, n'okujjula kwayo.
13 Nze naalyanga ennyama eya seddume, Oba naanywanga omusaayi gw'embuzi?
14 Owenga Katonda ssaddaaka ey'okwebaza; Osasulenga obweyamo bwo ali waggulu ennyo:
15 Era onkoowoolenga ku lunaku olw'okulaba ennaku; Ndikuwonya, naawe olingulumiza nze!
16 Naye omubi Katonda amugamba nti Ofaayo ki okubuulira amateeka gange, N'oyingiza endagaano yange mu kamwa ko?
17 Kubanga okyawa okuyigirizibwa, N'ebigambo byange obisuula ennyuma wo.
18 Bwe walaba omubbi walagaana naye, Era wassa ekimu n'abenzi.
19 Owaayo akamwa ko eri obubi, N'olulimi lwo lukola eby'obulimba.
20 Otuula ng'ovuma muganda wo; Era owaayiriza omwana wa nnyoko.
21 Ebyo wabikola, nange ne nsirika; N'olowooza nga nenkanankanira ddala naawe: Naye ndikunenya, ne mbiteeka mu maaso go.
22 Kale mulowooze kino, mmwe abeerabira Katonda, Nneme okubataagulataagula, okubulawo alibawonya:
23 Buli ampa ssaddaaka ey'okwebaza angulumiza; Naye alongoosa obulungi ekkubo lye Ndimulaga obulokozi bwa Katonda.