0:00
0:00

Essuula 94

Ai Mukama, ggwe Katonda nannyini kuwalana, Ggwe Katonda nannyini kuwalana, omasizemasize ddala.
2 Weeyimuse, ggwe asalira ensi emisango: Owe ab'amalala ebibagwanira.
3 Mukama, ababi balituusa wa, Ababi balituusa wa okuwangula?
4 Boogera ebitaliimu n'ebyamalala, Abakozi bobubi bonna beenyumiriza.
5 Bamenyaamenya abantu bo, ai Mukama, Era babonyaabonya obusika bwo.
6 Batta nnamwandu ne munnaggwanga, Era batta atalina kitaawe.
7 Ne boogera nti Mukama taalabe, So Katonda wa Yakobo taalowooze.
8 Mulowooze, mmwe abali ng'ensolo mu bantu: Nammwe abasirusiru, muligeziwala ddi?
9 Eyateekawo okutu, taliwulira? Eyabumba eriiso, taliraba?
10 Abonereza amawanga, talikangavvula, Ayigiriza abantu amagezi?
11 Mukama amanyi ebirowoozo by'abantu, Nga mukka.
12 Alina omukisa omuntu gw'obonereza, ai Mukama, Era gw'oyigiriza ebiva mu mateeka go;
13 Olyoke omuwummuze aleme okulaba ebiro eby'ennaku, Okutuusa obunnya lwe bulisimirwa ababi.
14 Kubanga Mukama talisuula bantu be, So talireka busika bwe.
15 Kubanga omusango gulidda mu butuukirivu: Ne bonna abalina emitima egy'amazima balibugoberera.
16 Ani anangolokokera ku abo abakola obubi? Ani anannyimiririra ku bakozi b'ebitali bya butuukirivu?
17 Singa Mukama teyali mubeezi wange, Emmeeme yange yanditudde mangu awali okusirika.
18 Bwe nnayogera nti Ekigere kyange kiseerera, Okusaasira kwo, ggwe Mukama, ne kumpanirira.
19 Mu birowoozo byange ebingi ebiri mu nze Okusanyusa kwo kumpoomera emmeeme yange.
20 Abafuga ababi balissa ekimu naawe, Abalagira eby'ettima mu mateeka?
21 Bakuŋŋaana okulumba emmeeme y'omutuukirivu, Ne basala omusango okusinga omusaayi ogutaliiko kabi.
22 Naye Mukama yabanga kigo kyange ekiwanvu; Era Katonda wange lye jjinja lye nneeyuna.
23 Era abaleeseeko obutali butuukirivu bwabwe bo, Era alibazikiriza mu bubi bwabwe; Mukama Katonda waffe alibazikiriza.