0:00
0:00

Essuula 30

Naakugulumizanga, ai Mukama; kubanga onnyimusizza, N'otobampanguza abalabe bange.
2 Ai Mukama Katonda wange, Naakukoowoola, naawe n'omponya.
3 Ai Mukama, walinnyisa emmeeme yange okuva mu magombe: Omponyezza okufa, nneme okukka mu bunnya.
4 Mumuyimbirenga Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be, N'erinnya lye ettukuvu mulyebazenga.
5 Kubanga obusungu bwe buyita mangu; Mu kisa kye mwe muli obulamu: Amaziga wozzi gayinza okubeerawo ekiro, Naye essanyu lijja obudde nga bukedde.
6 Nze bwe nnaweebwa omukisa, ne njogera nti Sirisagaasagana emirembe gyonna.
7 Ggwe, Mukama, mu kisa kyo wali onywezezza olusozi lwange: N'okisa amaaso go; ne nneeraliikirira.
8 Ne nkukoowoola ggwe, ai Mukama; Era Mukama ne mwegayirira;
9 Omusaayi gwange guligasa gutya, bwe ndikka mu bunnya? Enfuufu eneekutenderezanga? eneebuuliranga amazima go?
10 Wulira, ai Mukama, onsaasire: Mukama, ggwe beera omubeezi wange.
11 Onfuulidde okunakuwala kwange okuzina; Onziyeeko ebibukutu byange, onnyambazizza essanyu:
12 Ekitiibwa kyange kiryoke kikuyimbirenga okukutendereza, so kiremenga okusirika. Ai Mukama Katonda wange, naakwebazanga emirembe gyonna.