0:00
0:00

Essuula 22

Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza? Lwaki okubeera ewala obutanzibira, obutawulira bigambo eby'okukaaba kwange?
2 Ai Katonda wange, nkoowoola emisana, naawe n'otoddamu; Era n'ekiro, so ssisirika.
3 Naye ggwe oli mutukuvu, Ggwe atuula mu matendo ga Isiraeri.
4 Bajjajja baffe baakwesiganga ggwe: Beesiganga, naawe n'obawonya.
5 Baakukoowoolanga ggwe, ne bawonyezebwanga: Baakwesiganga ggwe, ne batakwasibwanga nsonyi.
6 Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, so ssiri muntu; Abasajja gwe bavuma, n'abantu gwe banyooma.
7 Bonna abandaba bansekerera ne banduulira: Bansooza n'emimwa gyabwe, banyeenya omutwe, nga boogera nti
8 Yeeweeyo eri Mukama; ye amulokole: Amuwonye, kubanga amusanyukira.
9 Naye ggwe wanziya mu lubuto lwa mmange: Ggwe wanneesiza bwe nnali nga nkyali ku mabeere ga mmange.
10 Neeyuna ggwe okuva mu kuzaalibwa kwange: Ggwe oli Katonda wange okuva mu lubuto lwa mmange.
11 Tombeera wala; kubanga akabi kali kumpi; Kubanga tewali anannyamba.
12 Zisseddume nnyingi zinneetoolodde: Zisseddume ez'amaanyi ez'e Basani zinzingizizza.
13 Banjasamidde akamwa kaabwe, Ng'empologoma etaagulataagula ewuluguma.
14 Nfukibwa ng'amazzi, N'amagumba gange gonna gasowose. Omutima gwange guli ng'obubaane; Gusaanuuse wakati mu byenda byange.
15 Amaanyi gange gakaliridde ng'olugyo; N'olulimi lwange lwegatta n'emba zange; Era ondeese mu nfuufu ey'okufa.
16 Kubanga embwa zinneetoolodde: Ekibiina ky'abo abakola obubi bantaayizizza; Bampummudde engalo zange n'ebigere byange.
17 Nnyinza okubala amagumba gange gonna; Bantunuulira, banvulumulira amaaso:
18 Bagabana ebyambalo byange, Ne bakuba akalulu ku lugoye lwange:
19 Naye tobeera wala, ai Mukama: Ai ggwe annyamba, yanguya okunzibira.
20 Wonya emmeeme yange eri ekitala; Ne kaganzi kange eri amaanyi g'embwa:
21 Ondokole mu kamwa k'empologama; Era ne mu mayembe g'embogo wanziramu.
22 Naabuuliranga erinnya lyo eri baganda bange: Wakati mu kibiina naakutenderezanga.
23 Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga; Mmwe mwenna ezzadde lya Yakobo, mumugulumizenga; Mumutyenga mmwe mwenna ezzadde lya Isiraeri.
24 Kubanga teyanyooma so teyakyawa nnaku z'oyo anakuwala; So teyamukisa amaaso ge; Naye bwe yamukoowoola, n'awulira.
25 Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene: Ndisasula obweyamo bwange mu maaso g'abo abamutya.
26 Abawombeefu balirya ne bakkuta: Balitendereza Mukama abamunoonya: Omutima gwammwe gubeerenga mulamu emirembe gyonna.
27 Enkomerero zonna ez'ensi zirijjukira ne zikyukira Mukama: N'ebika byonna eby'amawanga birisinza mu maaso go.
28 Kubanga obwakabaka bwa Mukama: Naye ye afuga amawanga.
29 Abagevvu bonna ab'ensi balirya ne basinza: N'abo abakka mu nfuufu balimufukaamirira, Ye atayinza kuwonya mmeeme ye okufa.
30 Ezzadde lirimuweereza; Kiribuulirwa ku Mukama okutuusa ku mirembe egigenda okujja.
31 Balijja ne babuulira obutuukirivu bwe Eri abantu abalizaalibwa, nga ye abukola: