0:00
0:00

Essuula 136

Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 Mumwebaze Katonda wa bakatonda: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
3 Mumwebaze Mukama w'abaami: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
4 Oyo akola eby'amagero ebikulu yekka: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
5 Oyo eyakola eggulu n'amagezi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
6 Oyo eyayaliira ensi waggulu ku mazzi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
7 Oyo eyakola ebyaka ebikulu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
8 Enjuba okufuga emisana: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
9 Omwezi n'emmunyeenye okufuga ekiro: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
10 Oyo eyakubira e Misiri ababereberye baabwe: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
11 N'aggyamu Isiraeri wakati mu bo: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
12 N'engalo ez'amaanyi, n'omukono omugolole: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
13 Oyo eyayawulamu wakati Ennyanja Emmyufu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
14 N'ayisa Isiraeri wakati mu yo: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
15 Naye n'asuulira Falaawo n'eggye lye mu Nnyanja Emmyufu. Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
16 Oyo eyaluŋŋamiza abantu be mu ddungu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
17 Oyo eyakuba bakabaka abakulu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
18 N'atta bakabaka abaatiikirivu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
19 Sikoni kabaka w'Abamoli: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
20 Ne Ogi kabaka w'e Basani: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
21 N'agaba ensi yaabwe okuba obusika: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
22 Okuba obusika eri Isiraeri omuddu we: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
23 Eyatujjukira bwe twajeera: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
24 N'atuwonya eri abalabe baffe: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
25 Awa ebyokulya ebirina emibiri byonna: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
26 Mumwebaze Katonda ow'omu ggulu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.